BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Omusirikale wa Saracen eyatta omusuubuzi asindikiddwa e Luzira

Moses Angoria omusirikale n’ekitongole kyobwanannyini kya Saracen eyakubye omusuubuzi Arnold Ainebyona Mugisha esasi eryamutiddewo ku Quality Supermarket, e Naalya olunaku lw’eggulo yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Kira mu Disitulikiti y’e Wakiso Joan Aciro wabula nga yalabise nga munafu nyo nga tasobola kuwozesebwa.
Angoria yagiddwa mu ddwaliro e Mulago gyabadde mu kujanjabwa oluvannyuma lw’okukubwa abantu ng’amaze okutta Arnold. Ono yaleeteddwa mu kkooti nga akwatiliddwa.
Wabula Angoria olwatuusiddwa mu kkooti yatandise okweyononera nga bwabuuza embuga wamu n’okwefukira bwatyo omulamuzi nalagira Poliisi emuzzeeyo afune obujanjabi.
Wabula oluvannyuma lw’essaawa eziwerako yakomezeddwawo mu Kkooti nga amaze okujanjabwa era nasomerwa omusango gw’okutta omuntu. Oludda oluwaabi lugamba nti nga 9 – July – 2019 Ongoria nga ali ku Quality Shopping Village e Naalya mu Divizoni y’e Namugongo mu Kira Municipality mu Disitulikiti y;e Wakiso n’ettima yasse Ainebyona ekimenya amateeka. Ono yatwaliddwa e Luzira okutuusa nga July 26.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply