Omusirikale wa Poliisi mu kitongole kya Flying Squad akwatiddwa lwakuwamba Bantu

PC. John Kalume ne munne gweyayise Moses Mukiibi kigambibwa bawamba Micheal Kisinga eyeyita Skater ku lwokutaano okuva ku Growers e Bwaise.

Bano bwebamala okuwamba Skater bakubira mukaziwe nebatandika okumusaba obukadde bubiri.

Mukyala wa Kisinga yatemya ku Poliisi ye Kawempe eyatandikirawo omuyiggo mweyakwatidde bano mu Bwaise mu motoka bakuntumye nga endabirwamu nzirugavu zonna.

Skater yatasiddwa nga mpaawo ssente ziweereddwayo wabula naye nakwatibwa nasibwa kuba abadde anoonyezebwa olw’emisango gyalina ku Poliisi era nga abadde anoonyezebwa Poliisi ye Kawempe olw’obubbi. .

Skater agamba yawambibwa lwangabana okuva ku deal eyali ewedde kweyalina Okubawa obukadde bwabwe bubiri wabula natabubawa.
Ono ne banne balindiridde kutwalibwa mu Kkooti ku bbalaza.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
MPs barred from travelling to allow quorum for constitutional reform bill debate.