Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 546 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Omusirikale wa Poliisi eyakuba omuntu essasi asindikiddwa e Luzira

September 17, 2022 · Mubiru Ali
Omusirikale wa Uganda Police Force ASP Lamech Owor eyakwatibwa kubyokukuba omusuubuzi w’e Namugongo essasi eryamuttirawo bweyatomera emotoka ye asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 6-October.
Owor yali musirikale wa Poliisi y’ebidduka ku Poliisi e Mukono eyasindikibwa ku Poliisi y’e Kawempe nga ICT Officer in Charge avunaanyizibwa ku kkamera enkettabikolwa, kigambibwa nti nga 13-August, Owor yakuba Brian Ssebyala omutuuze w’e Nsawo mu Namugongo essasi eryamuttirawo.
Ebiwandiiko bya Kkooti biraga nti ekiro kya 13-August, Ssebyala yapaakinga emotoka ye ekika kya Vista nnamba UAK 398D ngalinda mukwano ggwe, wabula oluvannyuma emotoka ye yatomerwa Premio, nnamba UBE 179F, eyategeerekeka oluvannyuma nti yali ya ASP Owori, omutuuze w’e Kito โ€œBโ€ Kirinya, Wakiso.
Poliisi egamba nti Owor bweyamala okutomera emotoka ya Ssebyala yavuga buvuzi nagenda mu maka ge, emotoka gyeyagibwa nesangibwako ebikulubule mu maaso, emmundu ye ekika kya basitoola yasangibwa amasasi 13 ng’erimu libulako era nekisosonkole ky’essasi kyasangibwa mu motoka ye.
Omuwaabi wa Gavumenti Kate Basuuta yategeezezza Kkooti nti banatera okumaliriza okukola okunoonyereza era nasabayo wiiki 3 okusobozesa Poliisi okumaliriza okunoonyereza nategeeza nti mu lutuula lwa Kkooti oluddako bajjakuba bamalirizza okunoonyereza ono bamusindike mu Kkooti Enkulu atandika okuwoza.