Omusirikale wa Military akubye owa Traffic amasasi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Abebyokwerinda batandise omuyiggo gw’omusirikale w’eggye lya UPDF akubye omusirikale wa Poliisi y’ebidduka owa Poliisi y’e Ntinda enkya yaleero amasasi agamulumizza. PC Robert Mukebezi yakubiddwa amasasi enkya yaleero e Ntinda bwabadde atudde mu kasiringi ebadde etwale emotoka ya UPDF ekika kya TX Prado nnamba H4DF 1391 eyomukulu mu maggye ebadde ekoze akabenje ngetomedde ekipande ky’essundiro lya Kobil.
Bano bayimiriziddwa abasirikale ba Military ababadde batambulira ku double-cabin eriko ennamba za Military okuliraana awaali Tuskys e Ntinda nebasindirira kasiringi amasasi.
Aberabiddeko bagamba nti bano olumaze okukuba omusirikale amasasi bamusise mu kasiringi nebamusuula wansi olwo nebalagira ddereeva avuge nga abagoberera.
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti bino byonna byabadde ku luguudo lwa Ntinda-Kiwatule emotoka ya UPDF bweyatomedde akapande ku ssaawa kumineemu ez’okumakya. Ayongerako nti emotoka eno bakedde kugisika, abasirikale ababadde mu byambalo bya Military bazze nebakuba amasasi ku ludda lwa ddereeva wabula nerikwata Mukezezi mu kugulu.
Ayongerako nti emotoka webagisikidde teyabadde muntu yabadde erekeddwawo ttayo.
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro