Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 36 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Omusirikale eyakubye Bannamawulire omukka ogubalagala mu maaso atandise okunoonyerezebwako

April 12, 2023 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’obukulembeze bwa Poliisi bwebuvumirira ennyo ekikolwa ekyakoleddwa ku Bannamawulire Isano Musafili Francis ne Thomas Kitimbo omusirikale wa Poliisi bweyabafuuyidde amazzi agabalagala mu maaso ku Mulago Guest House e Wandegeya.
Enanga agamba nti ekikolwa kino kyabadde tekyetaagisa kuba Bannamawulire baabadde bakola mulimu gwabwe. Ayongeddeko nti yadde omusirikale CPL Ogwal Yeeko yetondedde Bannamawulire, yawumuziddwa ku mulimu era nakwasibwa ekitongole kya Professional Standards Unit, anoonyerezebweko.
Asabye Bannamawulire bano ababiri okugenda bakole sitaatimenti ku PSU okusobozesa Poliisi okumuggulako emisango. Ayongeddeko nti batuusizza okwetonda kwabwe eri Bannamawulire bano.
Enanga ategeezezza nti bafulumizza ekiragiro eri abaduumizi bonna mu Ggwanga okutunula mu biragiro byabwe naddala mu bikwekweto.
Ayongeddeko nti basindise abasirikale ababadde baduumira ekikwekweto nga bano kuliko; ASP Kamulya Sowali OC Field Force Unit Kira division, AIP Ogwang John Steven OC operations Wandegeya ne PC Laker Harriet bano balagiddwa okugenda mu Professional Standards Unit banoonyerezebweko.