Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 138 listening Simba FM Live

Omusirikale eyakuba Ssentebe Luzige wakusibwa emyezi 4

August 20, 2020 · Mubiru Ali

Kkooti y’eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces’ (UPDF) ey’ekibinja ekisooka eyakubiriziddwa Col. Sam Mugyenyi olunaku lw’eggulo yawozesezza abasirikale b’eggye ekkuumabyalo Local Defence Unit (LDU) 2 ku musango gwokukuba n’okulumya Ssentebe wa Disitulikiti y’e Mityana Joseph Luzige.
Kkooti yakendeezza ku kibonerezo kyeyabadde ewadde Lance Corporal Angulia Simon Peter oluvannyuma lw’okukizuula nti Mw. Luzige yali amuwayirizza nti yeyatandika okumukuba so nga Ssentebe yeyatandika n’okumusika ekitogi.
Aba LDU okuli Okello Isaac, ne Odeke Solomon bagiddwako emisango oluvannyuma lwa Kkooti okukizuula nti tewaliwo bujulizi bulaga nti bakuba Ssentebe okuva mu bajjulizi 4. Era kyazuuliddwa nti tewaliwo bukakafu nti Mw. Luzige yakubwa eriiso era nalumizibwa nnyo nga bweyagamba mu sitaatimenti oluvannyuma lw’omusawo Dr. Lubogo okwegaana okumujanjaba oluvannyuma lwebyaliwo.
Lance Corporal Angulia yakenderezeddwa ku kibonerezo naweebwa emyezi 4 agimale mukomera lya Gavumenti.