Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 631 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omusinga wa Rwenzururu agenze mu kkooti okugisaba akirizibwe okugenda okuziika maama we

June 14, 2019 · Mubiru Ali

Okuwulira okusaba kw’Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere kugenda mu maaso mu maaso g’Omulamuzi Eva Luswata okumukiriza okugenda e Kasese okuziika Maama we Biira Christine Mukirania eyaffa ku lunaku olw’okubiri nga 11-june-2019. Omulamuzi abasabye okulaga obukakafu nti ddala yafudde nga baleeta Death Certificate wabula Munnamateeka wa Mumbere Alaka nategeeza omulamuzi nti tebasobodde kugenda Kasese kugifuna wabula asobola n’okuba nga yakiraba mu mawulire kuba mwekiri.
Mumbere asaba enaku 14 okuva nga June 15 okutuuka nga 1 July abeere nga akungubagira nnyina.
Ye DPP nga ayita mumuwaabi wa Gavumenti Reachel Bikholeis tawakanya kusaba kwa Mumbere wabula asaba nti enaku 14 bweziggwako obukwakulizo bwa Mumbere budizibwewo abeere nga takirizibwa kuddayo Kasese.
Era nti Mumbere alina kwenyigira mukukungubaga nakuziika byokka so ssi kukuba nkungaana eziyinza okukuma mu Bantu omuliro.
Omulamuzi wakuwa okusalawo kwe ku ssaawa musanvu olwaleero.