Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 220 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omusinga azziddwayo e Luzira

January 9, 2017 · Mubiru Ali

Omusinga w’Obusinga bwa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere azziddwayo mu kkomera e Luzira oluvannyuma lwa kkooti enkulu e Jinja okuwulira okusaba kwe okw’okweyimirirwa nga omulamuzi  Eva Luswata awadde olwokuna nga lwagenda okuwa ensalaye ku kino. 

Membere yasaba okweyimirirwa mu maaso g’omulamuzi Eva Luswata mu kkooti enkulu e Jinja. Membere avunaanibwa emisango egyenjawulo egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe, obutemu, obubbi ng’akozesa amaanyi, obutujju n’emirala.

Omulamuzi awadde olunaku olwokuna lwa ssabbiiti eno nga 12 Gatonya nga lwagenda okuwa ensalaye obanga akkirizza Mumbere okweyimirirwa agire ng’alya butaala oba nedda.