Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere akiriziddwa okugenda owketaba mukukungubaga wamu n’okuziika Maama we era nga akiriziddwa kugenda mu Disitulikiti 3 zokka okuli; Bundibugyo, Kabarole na Kasese zokka. Agaaniddwa okukuma mu Bantu omuliro wamu n’okulemesa okunoonyereza kwa Poliisi.
Ono wakweyanjulanga ku kitebe kya CID wamu n’ekkooti enkuli nga enaku 14 ezimuweereddwa ziweddeko.
Omusinga akiriziddwa kkooti okugenda okuziika Maama we

