Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 140 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omusinga agguddwako emisango emirala 12

December 13, 2016 · Mubiru Ali

Omusinga w’obusinga bwa Rwenzururu , Charles Wesley Mumbere enkya ya leero agguddwako emisango emirala okuva eri Gavumenti nga muno mulimu egyekuusa ku bikolwa eby’obutujju, okunyaga ebintu eby’enjawulo nga bakozesa emmundu , okugezaako okutirimbula abantu n’emirala .

Mumbere ssaabbiiti bbiri eziyise yaggulwako emisango gy’obutemu era n’asindikibwa ku Alimanda mu kkomera ly’e Kirinnya erya Gavumenti.

Omusinga leero aleeteddwa mu kkooti ย e Jinja mu maaso g’omulamuzi Francis Kaggwa era naggulwako emisango emirala 12.

Bo abalala bwebavunaanibwa n’ Omusinga tebaleeteddwa oluvanyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti Grace Ntege okutegeeza kkooti nti tebannakwatibwa era bakyalya butaala.

Wabula Omumbere bw’atuusiddwa mu maaso g’omulamuzi takkiriziddwa kwewozaako era n’amusindika ku Alimanda okutuusa nga 28 Ntenvu.