Omusiguze eyagenze mu maka ga musajja munne okwendaeramu ku kyalo Bulubandi Nandekula mu Ggombolola y’e Nakigo e Iganga bamusuuzizza emmotoka ekika kya Corona nnamba UAB 079T. Asuman yasangiddwa lubona nga asinda omukwano ne Fauza Namaganda Mukyala wa Kisaame omuvuzi wa Boda Boda mu kibuga Iganga.
Kisaame agamba nti yakomyeewo awaka ssaawa nga mukaaga ogw’ekiro bwatyo nakwata Asuman lubona nga asinda omukwano ne mukyala we Fauza omusuubuzi wa lumonde ne muwogo mu katale ko ku luguudo Mukwaya wabula omusiguze namuddukako emmotoka nagirekawo.
Poliisi yayitiddwa n’abaleeta kasiringi n’entwala emmotoka eno ku poliisi y’e Iganga.
Ssentebe w’ekyalo kino, Ramathan Samanya bwe yabuuzizza Namaganda ekyamukozezza kino, kwe kumutegeeza nga bba bw’abadde amutwala ng’ekifaananyi mu maka era nga tatuukiriza buvunaanyizibwa bwe ng’omusajja. Bwatyo n’avumirira Namaganda okuleeta omusiguze mu nju ya bba ekikolwa eky’obujoozi.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.