Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,199 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omusiguze asse nannyini mukazi naye attiddwa – Mubende

December 20, 2016 · Mubiru Ali

Police e Mubende eri mu kunoonyereza ku ngeri omusajja gyakkakkanye ku musajja munne n’amusala omwambe okukkakkana ng’amusse ng’ entabwe eva ku mukyala .

Omusasi waffe e Mubende Kimeze Expedito agamba nti atirimbuddwa Ntahangwa Mwabu (450 agambibwa okuba nga ate gyebuvuddeko mbu yawaayo mukyalawe eri omusiguze Kweyingane Vianne (40) oluvannyuma lw’okubakwata lubona, nga tekitegeerekese ate lwaki omusiguze akomyewo ate n’awoolera okukkakkana ng’asse musajja munne .

Abatuuse olulabye nti omusiguze afumise munne naamutta, naye nebamugoba era nebamukuba emiggo n’amayinja ebimuserengesezza e kalannamo nga bino byonna bibadde ku kyalo Kasongodde ekiri mu gombolola y’e Nabingoola .

Police okuva e Mubende ebadde tekyalina kyesobola kutaasa , n’eggyawo emirambo negitwalibwa mu ddwaliro e Mubende okwekebejjebwa. Kitalo .