Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 620 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Omusibe yeetugidde mu kaduukulu ka Police – Kyamuliibwa

June 22, 2017 · Mubiru Ali

 

Abaserikale ku Police Post emu mu Disitulikiti y’e Kalungu bakubiddwa ekikangabwa enkya ya leero bwebagenze okuzuukuka nga waliwo omusibe eyeetugidde mu kaduukulu.

Omugenzi abadde amanyiddwa nga Mukasa John ow’emyaka 32 yagombeddwamu obwala eggulo ng’agambibwa okuba nga yakkidde ennyumba ya muganda we n’agiteekera omuliro.

Omwogezi wa Police mu maserengeta ga Yuganda, Lameck Kigozi akakasizza enjega eno era n’agamba nti yagudde ku Police y’e Kyamuliibwa.ย