Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 350 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Omuserikale akubye mukuumi munne amasasi agamuttiddewo – Kayunga

June 21, 2017 · Mubiru Ali

Police e Kayunga eri ku muyiggo gwa muserikale wa Kkampuni ey’obwannannyini ateeberezebwa okukuba mukuumi munne amasasi agamuttiddewo ย mu kiro ekikeesezza olwaleero mu kibuga Kayunga.ย 

Kato Vincent omusasi waffe obuuyi obwo atutegeezezza nti Chemonges Robert nga mukuumi okuva mu Kkampuni ya Securex ng’abadde akuuma Centenary Bank ettabi ly’e Kayunga, yeyakubye munne Sserugo Ronald abadde akuuma essundiro ly’amafuta erya Gapco era nga nalyo liri Kayunga amasasi agamuttiddewo era nga Chemonges olumusse n’assaako kakokola tondeka nnyuma.

Bo abatuuze bagamba nti bano eyinza kuba nga evudde ku kuba nga bakwana omuwala omu so nga ate abalala bagamba nti Sserugo yaaliba nga yabadde alemesa Chemonges okuyisaawo omulyo gwe.