Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 67 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Omuserikale abadde amalirizza okutendekebwa akubiddwa laddu

July 22, 2016 · Mubiru Ali

Omuserikale wa Police ku ddaala lya Cadet abadde amalirizza okutendekebwa mu tendekero lya Police erisangibwa e Masindi akubiddwa laddu n’afiirawo .ย 

Omuserikale ono amanyiddwa nga Moris Orach abadde yebase mu kifo kyebasulamu ladde gyemukubidde

Omu ku banne ba Orach bwebabadde batendekebwa agamba nti Orach abadde yaakadda okuva ku musomo gw’ekiro nga agalamiddeko ku buliri bwe.

Ye ayogerera Police mu ggwanga Fred Enanga agamba nti ettendekero lino lirina obuuma obukwata laddu naye tekitegeerekeka lwaki laddu ekubye mu kifo kino .

Orach abadde omu ku baserikale 500 abatendekebwa okuva mu Kafuumuulampawu wa 2015 ng’abadde amalirizza era ng’alinda mukolo gumusiibula ate waagendedde e kalannamo .