Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 226 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Omusawo w’ekinnansi akwatiddwa n’emmundu bbiri

June 27, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Masaka ekutte omusawo w’ekinnansi n’emmundu bbiri nga azikwese mu nnyumba ye. Omwogezi wa Poliisi mu Maserengeta Lameck Kigozi yakakasiza nti Makumbi Moses omutuuze w’e Kayiji, e Mukungwe mu Masaka yakwatiddwa n’emmundu bbiri.

Kigambibwa nti ono alina n’okunnyonnyola ku musango gw’omwana ow’emyaka 2 Passy Mirembe eyasadakibwa omwaka oguwedde. Bazadde b’omwana ono Moses Kalangwa ne Immaculate Nakato badduka mu maka gaabwe olwe bigambibwa nti baali batiisitisibwa.

District Police Commander w’e Masaka Henry Kintu agamba nti emmundu ezakwatiddwa ne Makumbi azirinako license era nga azisasulira omusolo, wabula nga tezinamudizibwa Poliisi erina okusooka okunoonyereza ku ngeri gyazikozesaamu.