Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 350 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Omusawo w’ekinnansi agombeddwamu obwala lwa kutulugunya mwana we

November 9, 2016 · Mubiru Ali

Police e Mityana eriko omusawo w’ekinnansi gw’ekutte ne mukyalawe nga baliko omwana waabwe gwebabaddenga batulugunya.

Kintu Matiya ow’emyaka 42 omusawo ย w’ekinnansi ne mukyalawe Nakalema Jackline abatuuze bookukyalo Kitinkokola mu Disitulikiti y’e Mityana Police beekutte nga bano kigambibwa okuba nga babadde bakkakkana ku mwana waabwe ow’emyaka omunaana ne bamukuba emiggo egibula okumutta kyenkana buli lunaku.

Bano kumiggo babadde bagattako okumumma emmere wamu n’obutamuyamba kumunaaza wamu n’ okumutundula envunza.

Omwogezi wa Police mu kitundu ekya Wamala Region Afande Nobert Ocomu akakasizza okukwatibwa kw’abafumbo bano ababiri nga bagenda kuggulwako emisango egy’okutyoboola eddembe ly’omwana .