Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 433 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Omusawo w’ekinnansi agambibwa okusaddaaka omwana mukwate – Rakai

February 7, 2017 · Mubiru Ali

Omusawo ow’ekinnansi agambibwa okusaddaaka omwana omulenze wa  myaka 5 agombeddwamu obwala n’atwalibwa ku  Police y’e Rakai.

Omusawo ono abadde ayitibwa Galabuzi naye nga yakwatiddwa eyo mu Disitulikiti y’e Mbarara ng’adduka egende e Kasese yeekukume.

Galabuzi okugombebwamu obwala kiddiridde ansasagge eyali kibuga my’ Kyotera ssabbiiti ewedde, omwana Yona Mubiru bweyasangibwa nga atemeddwako omutwe nga n’omusaayi baagulembese.

Awo nno okuva olwo, Police ebadde ku muyiggo okutuusa lwefunye Galabuzi ng’amalamu omusulo. Wetwogerera nga ono akuumirwa ku Police e Rakai nga n’omuyiggo ku balala bwegutojjera.