Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 417 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omusango gwa Bobi Wine sijja guvaamu – Ssaabalamuzi Owiny-Dollo

February 23, 2021 · Mubiru Ali
Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Dollo avuddeyo olunaku olwaleero nga bwatagenda kuva mukuwulira musango gwa Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nga awakanya okulangirirwa kwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuwanguzi wa Kalulu ka 2021 nga ensonga wakuziwa mu nsala ye nga 18 – March.
Mu ngeri yemu, okuwulira omusango gwa Kyagulanyi kukyagenda mu maaso ng’olunaku olw’enkya ye ‘Plea Trial Conference’ kuba Bannamateeka be tebanategeeza Kkooti mu butongole nti baggyeyo okwemulugunya kwabwe.
Okusaba kwa Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okuva mu musango guno kwateekebwayo Munnamateeka Hassana Male Mabiriizi nga agamba nti Ssaabalamuzi Dollo asaanye aveemu kuba yandiba nekyekubiira kuba mu 2006 yali Munnamateeka wa Pulezidenti Museveni ate nga babadde basisinkana n’omuwawabirwa okuva lweyamulonda nga Ssaabalamuzi.