Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 314 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omusango gwa Bank of Uganda ne Sudhir gwongezeddwayo

July 4, 2019 · Mubiru Ali

Omusuubuzi wo Dr. Sudhir Ruparelia avuddeyo nasaba Kkooti y’ebyobusuubuzi egobe omusango ogwa muggulwako Bbanka enkulu eya Yuganda nga agamba nti yanyigiriza nnyo okulaba nti emuggulako omusango ye ne Kkampuni ye eya Meera Investement.
Bbanka enkulu yawawabira Ruparelia nga egamba nti yakumpanya ensimbi okuva mu bbanka ye eya Crane Bank eziwereza ddala obuwumbi 397.
Wabula Ruparelia nga ayita mu Bannamateeka be aba Kampala Associated Advocates olunaku lw’eggulo yataddeyo okuwakanya kwe eri Omulamuzi David Wangutusi nga amusaba agobe omusango guno.
Bannamateeka bagamba nti Bbanka enkulu yalina emitendera esatu mweyali esobola okuyita okuzza Crane Bank okugeza nti yali esobola okuteekawo omuntu omulala okugiddukanya okusinga okugitunda.

Elison Karuhanga munnamateeka wa Sudhir agamba nti Bbanka enkulu yasalawo kutunda Bbanka eno mu bwangu so nga yalina okukikola mu myezi 12 so si kuwawabira baali bagiddukanya.
Wabula ye Munnamateeka wa Bbanka enkulu Dr. Joseph Byamugisha yategeezezza nti Bbanka yonna bwetundibwa tekiremesa kuwawabira musango gwonna.

Omulamuzi Wangutusi ataddewo August 26 okuwa ensala ye ku kugoba omusango guno.