Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 355 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
Sports

Omusambi wa Egypt agobeddwa lwakuganza bakazi ba basambi banne

June 26, 2019 · Mubiru Ali
#SimbaSportsUpdates;
Ttiimu y’eggwanga eya Egypt ekakasizza nga bwegobye omusambi waayo Amr Warda (Midfielder) nemulagira adde awaka embagirawo. Warda 25, bwebaali betegekera ekikopo kya AFCON 2019 engambo nezitandika okuyitingana nti yali atuula bazannyi banne mu kifuba bweyali akyasambira ttiimu ya Greek Super League Champions POAK.
Omukutu ogumu ogw’amawulire ogwa Yallakora gwannyonyodde nti Warda era avunaaniddwa ogw’okukabasanya abakazi ku ‘Social Media’ ng’abasaba ebifaananyi byabwe nga bali bukunya.
ย 
Ihab Lehita, nga yakulira ebyamawulire ku ttiimu ya Egypt eya Pharaohs yakakasizza nti Warda yagobeddwa oluvannyuma lw’abakulu mu nkambi okukiriziganya era kino bakikoze kibeere ekyokulabirako eri abazannyi abalala wamu n’okukwasisa empisa.