Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 138 listening Simba FM Live

Omusajja ayambalidde enkofiira ya People Power ku kyambalo kya UPDF bamunooya

August 18, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi w’eggye lya Uganda Peoples’ Defence Airforces – UPDF Brig. Gen. Flavia Byekwaso avuddeyo ku kifaananyi ky’omusajja ayambadde Yunifoomu y’amaggye nga atandeko enkofiira ya People Power Our Power wamu ne Mask nga agenze ku kitebe kya National Unity Platform – NUP e Kamwokya; “Ekifaananyi ky’omusajja atanategeerekeka nga ayambadde Yunifoomu ya UPDF nga n’amannya agaliko tegalabika bulungi nga abisse n’amayinja wabula nga ayambadde enkofiira y’ekisinde kya People Power kitambudde ku social media.
Kino kigezaako kunafuya mpozzi n’okulaga nti abamu ku basirikale balina oludda.
UPDF evumirira nnyo ekikolwa kino ekimenya amateeka era yatandise dda okukola okunoonyereza okuzuula ono yani era avunaanibwe kuba si musirikale wa UPDF.”