Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 342 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omusajja ateeberezebwa okutta muwala we atemeza mabega wa mitayimbwa – Nakaseke

October 12, 2017 · Mubiru Ali

Police e Nakaseke eriko omusajja gwegombyemu obwala ateeberezebwa okukkira muwalawe wa mwaka gumu n’amutugumbula n’amutta wamu n’okugezaako okutta mukyalawe .

Hetchko Sserunjogi nga mutuuze wooku kyalo Katale ekisangibwa mu ttawuni kkanso y’e Ssemuto mu Disitulikiti y’e Nakaseke y’etemeza emabega w’emitayimbwa oluvannyuma lw’okutta muwalawe Pretty Nabatanzi ate n’okugezaako okutta mukwalawe ategeerekeseeko erya Nabatte mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Mulirwana wa Sserunjogi, Moses Ssengendo ategeezezza Luboggola Simba nti omusajja ono yakomyewo ekiro nga ssaawa munaana ng’atamidde n’atandika okuyomba ne mukazi we wabula omukazi bweyasimattusse ate omwana n’akafiiramu. Kitalo