Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,166 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Omusajja atanategerekeka asangiddwa nga afudde

June 19, 2018 · Mubiru Ali

Abatuuze e Bwaise okuliraana akatale k`ebyenyaja ku luguudo Lwa Sir Apollo Kaggwa bakeredde mu ntiisa oluvanyuma lw`omusajja atategerekese mannya okuttibwa.

Ono atemera mu myaka 30 omulambo gwe gusangiddwa nga gugangalamye mu paaka ya takisi.

Abamu kubakolera mu paaka eno bagamba nti omusajja ono tebamumanyi wabula nga kibakubye wala webakedde okujja okukola wabula nebasanga mulambo webakolera.

Poliisi okuva mu kikoni oluvanyuma ezze omulambo negujibwawo era negutwalibwa mu gwanika e Mulago ng`okunonyereza wekugenda mu maaso.