Omusajja asibiddwa emyaka 10 lwakubbira ku mobile money.

John Turyarenga Mutambira 32, yasimbiddwa mu maaso g’abalamuzi babiri nasomerwa emisango gy’okubbira ku mobile money ebiri egyenjawulo ku kkooti ya Buganda Road.

Omusango ogwasoose;

Mutambira yasigisiddwa omusango gw’okuwudiisa Mayor wa Ntungamo Municipality Jacob Kafureka nga amuweereza message nti Mutabani we MP wa Ntungamo Municipality Ho. Gerald Karuhanga yali yetaaga obukadde busatu mu emitwalo kyenda nga 12-July-2017, era Mw. Kafureka yagezaako okukubira mutabaniwe wabula nga essimu teyitamu bwatyo naweereza ssente ku mobile money nga bwebaali bamugambaye.

Wabula oluvannyuma yayogerako ne mutabani we eyamutegeeza nti yali tanamusaba ssente era bwatyo nawaba omusango ku poliisi ne bakwata Mutambira.
Omulamuzi Gladys Kamasanyu yeyasalidde Mutambira emyaka 7 mu kkomera wamu n’okulagira nti emotoka Mutambira gyeyali aguze mu ssente zeyabba eweebwe Mw. Kafureka.

Omusango ogw’okubiri

Omulamuzi omukulu ku kkooti ya Buganda Road James Ereemye, yasalidde Mutambira omusango gw’okuwudiisa David Bazibu, Manager wa Ankole Resort Hotel, bweyamuweereza message nti Deputy Attorney General Mwesigwa Rukutana nti yali amulagidde ye Bazibu okumuweereza ssente kulwa Contract gyebalina okumaliriza.

Kyazuliddwa nti Mutambira yakozesa line eyali mu mannya ga Simon Peter Mateega nalagira Bazibu okumuweereza obukadde busatu. Bwatyo omulamuzi yamulagidde asasula fine yabukadde buna oba okusibibwa emyaka 3 wamu n’okusasula Bazibu ssente zonna zeyamujjako.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Mubende Father Impregnants Two own Daughters