Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 319 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Omusajja akubye omwana we emiggo n’amutta .

November 30, 2015 · Mubiru Ali

Ennaku esaanikidde abatuuze ku kyalo Buyiiya mu Disitulikiti ye Mubende , omusajja bw’agudde ku katabani ke ak’emyaka 12, n’akakuba emiggo egikatutte ekalannamo.

Kyambadde Jimmy myaka 40, asanze katabani ke Ssenyonjo Aloysious  nga katambuddeko  , era bwekakomyewo kitaawe waako n’akakuba mizibu mbu tekalina kutaayaaya ku kyalo .

Enduulu bw’evuze ennyo abatuuze ne bajja okudduukirira , nebagezaako okuddusa omwana ono mu ddwaliro lya Gavumenti e Mubende bw’atyo n’afa nga bamutuusa mu ddwaliro.

Aduumira Police mu bitundu bya Mubende , Alex Wabwire  akakasizza kino era n’omusajja akwatiddwa nga kati atemeza mabega wa mitayimbwa.