Omusajja abadde agezaako okunyaga emmundu ku musirikale akwatiddwa

Poliisi y’e Kaliisizo mu district y’e Kyotera ekutte Ssegawa George William 34, omutuuze w’e Matale mu Kaliisizo Town Council lwakugezaako kubba mmundu ku musirikale wa Poliisi PC Watira Vincent eyabadde aleeteddwa okukuuma eddembe ku bbaala ya Rhinaz Pub.

Kigambibwa nti ku ssaawa nga mwenda ez’okumakya ono yalumbye omusirikale nga akutte obwambe bubiri natandika okulwanagana n’omusirikale eyamusinza amaanyi wabula namwesimattulako nadduka namulekera essaati omwabadde ebiwandiiko ebimukwatako wamu n’essimu Poliisi byeyakozesezza okumunoonya nemukwata. Kigambibwa nti ono yakolerako e South Africa ne Somalia nga omukuumi okusinziira ku biwandiiko ebyasangiddwa naye.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
ABASUUBUZI E LUKAYA BATABUKIDDE POLIISI