Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 376 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Omupoliisi Nickson kkooti y’amagye emummye okweyimirirwa

February 12, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu ey'ekinnamagye egaanye okuyimbula ku kakalu kaayo Omuserikale wa Police Nickson Agasirwe Karuhanga nga ono ye yali aduumira ekibinja kya Police ekyali kikola ku bikwekweto eby'enjawulo .

Nickson avunaanibwa emisango gy'okuba nti aliko Bannansi b'eggwanga erya Rwanda beyawamba era n'abawaliriza okudda okwa boobwe .

Kkooti eno nga etulako abantu musanvu abakulirwa Lt. General Andrew Guti egobye okusaba kwa Agasirwe okw'okweyimirirwa nga bagamba nti abantu baabadde aleese okumweyimirira babadde tebamatiza bulungi kkooti nti bwebanaamukkiriza okweyimirirwa ayinza okudda so nga ate n'eddaala ly'aliko erya Senior Supretendant alina n'obusobozi obutaataaganya okunoonyereza ku misango egimuvunaanibwa.