Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 453 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Omumyuuka wa Ssaabaminisita asooke era nga ye Minisita…

December 28, 2025 · Radio Simba

Omumyuuka wa Ssaabaminisita asooke era nga ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omukago gw’Amawanga g’obuvanjuba Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga avudddeyo nasambajja engambo ezibadde zitambuzibwa nti muyi nnyo ate abalala nga bagamba nti yafudde nategeeza nti akyali mulamu tteke, era anoonya kalulu.
Kadaga okwogera bino yabadde atongoza enkola y’okunoonya akalulu nju ku nju mu kitundu gyabeera ekya Busobya, Mbulamuti Town Council, bwatyo nagumya abawagizi be ssaako naabo bakiikirira nti akyali mu lwokaano era mulamu bulungi.
Kadaga yategeezezza nga bwewaliwo abantu abasasulwa okuttattana erinnya lye era nga emirundi mingi bavuddeyo nebamubika wabula nabaswaza nga avuddeyo mulamu.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
Ekifaananyi kya: URN

Radio Simba News