Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 453 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Omumyuuka wa Ssaabaminisita asooka Rt Hon Rebecca Alitwala…

December 28, 2025 · Radio Simba

Omumyuuka wa Ssaabaminisita asooka Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga avuddeyo ku besimbyeewo abawandulwa Akakiiko k’Ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda; “Okuggya abavuganya mu lwokaano kakoddyo kapya. Kino tetwakirina mu National Resistance Movement – NRM emabegako. Eno nkola ereeteddwa abantu abatya okubavuganya. Gyebawulira nti banafu tebaagala bantu balala kwesimbawo. Siri musanyufu nangeri Akakiiko kebyokulonda gyekeyisaamu ensangi zino.
Buli lunaku wabaawo eyesimbyewo aggibwa mu lwokaano nga tebamuyise kuwulira ludda lwe. Buno sibwenkanya.”
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026

Radio Simba News