Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 293 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Omumyuuka wa Sipiika alambudde olutindo lwa Katongo

November 7, 2023 · Mubiru Ali
Gavumenti etaddewo ensimbi obuwumbi 150 ezigenda okukozesebwa okuzzaawo olutindo lw’omugga Katonga, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Olutindo luno lwagwamu ku nkomerero y’omwezi ogwokutaano omwaka guno oluvannyuma lw’omugga Katonga okubooga neguwaguza ekyasannyalaza eby’entambula.
Mu kiseera kino emmotoka entono baazikolera ekitundu wezisobola okuyita, wabula ng’ennene ezetikka ebintu ebizito tezinakkirizibwa kuddamu kulukozesa nga zikozesa oluguudo lwa Mpigi- Gomba, Ssembabule – Villa Maria.
Ensimbi zino zanjuddwa omumyuka wa Sipiika, Thomas Tayebwa bw’abadde alambula emirimu ekitongole kya Uganda National Roads Authority gyekikoze kasookedde batandika ku ddimu lino.