Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live

Omuliro gusanyizaawo amadduuka e Iganga

June 8, 2020 · Mubiru Ali

Ebintu byabukadde nabukadde bw’ensimbi byebitokomokedde mu nabbambula w’omuliro akutte ekizimbe ekimu mu Iganga Municipality ku Main Street.
Kigambibwa nti ekizimbe kino kyamusuubuzi wa cement omututumufu mu Iganga nga kiriko amaduuka mangi agatunda ebintu ebitali bimu kyoka ebisinga obungi bisirikidde mu muliro.
Motoka ya Poliiisi ezikiriza omuliro egenze okutuuka mu kifo kina nga ebintu ebisinga obungi biyidde
DPC wa Iganga Ndawula Davis Willis agamba nti Uganda Police Force etandise okunoonyereza kiki ekivuddeko omuliro guno.
Bya Willy Kadama