Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 429 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Omuliro gukutte ekisulo ky’essomero e Lukaya

February 23, 2024 · Mubiru Ali

Nabbambula w’omuliro atanategeerekeka kwavudde akutte ekisulo ky’abayizi abawala ku ssomero lya God Cares Christian Primary School erisangibwa e Kirinnya mu Lukaya Town Council mu Disitulikiti y’e Kalungu mu kiro ekikeesezza olwaleero era ebintu by’abayizi byonna nebisaanawo. Mpaawo muyizi agiiridde mu muliro guno.
Ye omwogezi wa Poliisi ow’ettunduttundu ly’e Masaka Kasirye Twaha ategeezezza nti Uganda Police Force etandikiddewo okunoonyereza ku kiki ekivuddeko omuliro guno.