Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,317 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Omulimu gwokuzzaawo Amasiro gutuusu mu mitendera egisembayo

February 13, 2025 · Mubiru Ali

Omulimu gw’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi gutuuse ku mitendera egisembayo, Ssaabasajja musiimu n’omulimu ogukoleddwa.
Okuddaabiriza kabuyonjo, oluggya omusimbwa e motoka, okuyunga amasannyalaze mu buli kanyomero, okumaliriza ennyumba z’Abazaana, bye bimu ku bisigadde okutereezebwa olwo omulimu gw’okugaddaabiriza guggyibweko engalo.
Bw’abadde alambula omulimu guno ne Baminisita ba Kabaka ssaako abakiise mu lukiiko lwa Buganda naddala abatuula ku kakiiko k’ebyobuwangwa n’ennono, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti ebisembayo mu kuyoyota ennyumba byetaaga bwegendereza era omulimu okujjibwako engalo gulina okuba nga guwedde bulungi.
Yebazizza nnyo obugumiikiriza abantu ba Buganda bwe boolesezza nebataterebuka olw’obulumi bwe bayiseemu.
Mu kiseera kino abalambuzi, amasomero, n’Abantu ssekinnoomu bakkirizibwa okugenda okulambula amasiro gano oluvannyuma lwa UNESCO okugawanduukulula ku lukalala lw’ebifo by’obulambuzi ebiri mu katyabaga gyebuvuddeko.
Amasiro g’e Kasubi gayokebwa omuliro mu mwaka gwa 2010, era kaweefube w’okugazzaawo azze akolebwa mu ngeri ez’enjawulo omuli okusonda ettoffaali, olumuli n’endala.
#ffemmwemmweffe