Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 229 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Omulamuzi wa Kkooti ye Kawempe etuula e Kanyanya…

December 22, 2025 · Radio Simba

Omulamuzi wa Kkooti y’e Kawempe etuula e Kanyanya n’olunaku olwaleero agaanye Bannakibiina ki National Unity Platform okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti omulundi ogwokusatu yadde nga baweza dda enaku ezesalira ezirambikibwa Ssemateeka omuntu okuweebwa akakalu akobuwaze nga agamba nti bano banditaataganya okunoonyereza okunoonyereza wamu n’okutiisatiisa abajulizi b’oludda oluwaabi.
Bano kuliko omumyuuka w’omwogezi wa NUP @Alex Waisswa Mufumbiro, Edward Ssebuufu aka @Eddie Mutwe, Achileo Kivumbi, Saudha Madada n’abalala. Omulamuzi alagidde bazzibweyo mu kkomera e Luzira okutuusa nga 7 – January – 2025.
Oludda oluwaabi lugamba nti bano benyigira mu dduyiro owekinamaggye ngekirabo ky’amazaalibwa eri Pulezidenti w’Ekibiina Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nga 23-February-2025 ku kitebe ky’ekibiina.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

Radio Simba News