🗳️ Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Iganga Simon Peter Kinobe asazizzaamu obuwanguzi bwa Nankwanga Stella Maris ku kifo ky’Omubaka omukyka owa Disitulikiti y’e Bugweri nalangirira Munnakibiina ki National Resistance Movement – NRM Nalugoda Mutesi ng’Omubaka.
Omulamuzi ategeezezza nti mukaseera akokwewandiisa Nankwanga teyawaayo biwandiiko byabuyigirize ebyali bimwetaagisa.
Kkooti ekizudde nti ebbaluwa ya Post Basic Diploma in Public Health gyeyawaayo mu kwewandiisa yali yali tetuukiriza buyigirize bwetaagisa nti wabula entuufu eyatereezebwa eya Diploma in Public Health yaweebwayo oluvannyuma lwokwewandiisa.
Nankwanga yawangula n’obululu 15,151, ate Aminah nafuna 13,683.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

