Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 484 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omulamuzi Nnyanzi agobye okusaba kw’omuwaabi wa Gavumenti

June 18, 2019 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nnyanzi yagobye okusaba kw’omuwaabi wa Gavumenti Mike Chibita mweyasabira omulamuzi Nnyanzi addemu yetegereze ekiragiro kyeyawa eky’okuddamu okuvunaana Baker Walusimbi eyali avunaanibwa ogw’obutemu. Kinajjukirwa nti Walusimbi yakwatibwa navunaanibwa omusango gw’okutta abayizi ba Yunivasite 3 mu 2006.
Nga 17 October 2018, Omulamuzi Justice Nnyanzi yata Walusimbi ku kakalu ka Kkooti era nalagira addemu avunaanibwa buto oluvannyuma lw’okumala emyaka 13 ku alimanda mu kkomera e Luzira olwokuba kkooti yalemererwa okuwa ensala yaayo oluvannyuma lwa ba Court Accessors mu musango ggwe babiri okubula okuva omusango lwegwasalwa mu 2006.