Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omulamuzi akwatiddwa lwakulya nguzi

August 28, 2018 · Mubiru Ali

Amyuka Ssaabalamuzi wa Kenya Philomena Mwilu akwatiddwa wamu ne munnamateeka Stanley Muluvi ku misango 13 egyekuusa ku kulya enguzi. Ono yakwatiddwa ku ssaawa munaana ez’emisana ku kkooti enkulu.

Director wa Public Prosecutions Noordin Haji agamba nti balina obujulizi obulumika Mwilu nga bweyakozesa obubi office ye wamu n’okufuna ensimbi mu lukujjukujju. Kigambibwa nti ono avunaanibwa okulemererwa okusasula emisolo n’emisango emirala.

Ono oluvannyuma ateereddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 5 obwa Kenya era nalagirwa okulabikako mu maaso g’omulamuzi ku lw’okusato ssaawa ssatu ez’okumakya wamu ne Stanley Muluvi.