Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 350 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omulamuzi agobye oguvunaanibwa Don Nasser

June 28, 2019 · Mubiru Ali

Omulamuzi Mary Babirye yasazeewo okugoba omusango ogubadde guvunaanibwa omuvubuka eyali yegumbulidde okusasaanya ssente mu Kampala Nasser Nduhukire aka Don Nasser 32. Omulamuzi yategeezezza nga bweyamugyeeko emisango egibadde gimuvunaanibwa nga agamba nti oludda oluwaabi lubuliddwa obujulizi obumala okumuluma era nga abadde amaze ebbanga eriwerako ng’asaba oludda oluwaabi okuleeta obujulizi naye nga tebabuleeta.
Era Omulamuzi yaligidde Poliisi okumuddiza ebintu bye byonna ebyali byaboyebwa.
Kinajjukirwa nti Don Nasser yakwatibwa Poliisi ku bigambibwanti aliko omusajja omumerika Johnhill gwe yafera ensimbi eziwerera ddala ddoola z’Amerika emitwalo nsanvu ($700,000) ng’era yali amaze akabanga nga amunoonya. Oluvannyuma Poliisi yamukwata ne banne okwali Hamuza Melema ne Gilbert Ssesaazi.