Breaking
News: Two children were killed and three others injured in a stabbing attack at Kalungu Bunga, Ggaba Parish in Makindye Division early Thursday morning. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,483 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Omulamuzi agobezza aba CMI omusibe

September 13, 2019 · Mubiru Ali

Omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti ya Kampala Capital City Authority – KCCA olunaku lw’eggulo yagaanye okujja obujulizi ku agambibwa nti yenyigira mu kutta Maria Nagiriinya Gateni wamu ne Ronald Kitayimbwa.
Olunaku lw’eggulo abebyokwerinda okuva ku CMI ne Poliisi batutte Johnson Lubega ku Kkooti ya KCCA nga baagala akole sitaatimenti nga akakasa nga bweyenyigira mu kuwamba wamu n’okutta abantu bano.
Omulamuzi Valerian Tuhimbise yagaanye nategeeza nti omusibe yabadde aleeteddwa nga obudde bugenze so nga yabadde yetaaga obudde bungi okuwandiika wamu n’okwetegeka.
Okusinziira ku balabye ku Lubega abatayagadde kwatuukirizibwa mannya bategeezezza nti yabadde n’ebiwundu ku mikono ekyoleka nti yandiba nga yatulugunyiziddwa abo abamukwata nga baagala akirize.