Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 371 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Omulambuzi agudde mu mugga Kiyira nafiirawo

April 8, 2019 · Mubiru Ali

Omulambuzi Munnansi wa Saudi Arabia agudde mu mugga Kiyira bwabadde nga agenze ne banne okulambula ebiyiriro  bya Kalagala falls ebisangibwa mu Ggombolola y’e Kangulumira mu Disitulikiti y’e Kayunga.

Omugenzi ategerekese nga ye Asubale Masike Nasser nga ono abadde atemera mugyobukulu 45. Omugenzi kigambibwa nti okutuuka okulugulamu obulamu kidiridde okulinya ku jjinja eriseerera bwatyo naggwa mu mazzi agadduka enyo.

Omwogezi wa poliisi mu Sezibwa Region Helen Mutoto akakasizza okuffa kwo mulambuzi ono Asubale Nasser wabula n’ategeeza nga omulambo gwe bwegutanazuulwa wabula nga Poliisi eyungudde balubbira baayo awamu n’abebitongole ebirala gatakko Abavubi mu kitundu ekyo bayambeko mukuzuula omulambo gw’omulambuzi ono nga okunoonyereza kwa Poliisi bwekugenda mumaaso.

Wabula bbo banne abalala ababiri babadde atambudde nabo basobodde okuwona.