Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 501 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omulambo gw’omuserikale wa Securiko gunnyuluddwa mu Nnyanja Nalubaale

January 5, 2018 · Mubiru Ali

Police yooku mazzi e Jinja  eriko omulambo gw'omusarikale wa Securiko Sam Obua gwennyuludde mu mazzi ku mwalo gwa Rippon Falls ku nnyanja Nalubaale. 

Kizuuliddwa nti Obua abadde akolera mu kkampuni ya Alert Security Company esangibwa  e Jinja ku luguudo lw'e Iganga era nga omulambo gusangiddwa nga guseeyeeyeza ku nnyanja Nalubaale. 

Obua yabula okuva nga 01 omwezi guno ogwa Gatonnya 2018 era emmundu ye n'esangibwa ku ssomero lya St. Moses Primary School. Bwatyo aduumira Police e Jinja, Mbabazi Martin ategeezezza nti omulambo gwa Obua gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwalir ly'e Jinja.