Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 993 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omulabirizi omuggya ow’obulabirizi bw’e Mukono atuuziddwa

February 26, 2023 · Mubiru Ali
Essanyu libugaanye Abakulisitaayo mu Bulabirizi bw’e Mukono nga baaniriza omulabirizi omuggya Rev. Canon Enos Kitto Kagodo. Ono ye mulabirizi owookutaano ng’addidde Bishop. James William Ssebaggala mu bigere ng’ono abadde mu ntebe eno okumala emyaka 12.
Omulabirizi wa Mukono omuggya, Rt. Rev. Enos Kitto Kagodo asabye Abakulisitaayo basimbe emmwaanyi n’ensuku okusobola okutaasa ettaka ly’ekkanisa ku babbi era baliteekeko emiti mu ngeri y’okuliramba kibayambe okulirondoola obulungi.
Eyavuganyako ku ntebe y’omukulembeze we ggwanga Katumba Oyee n’omubaka wa Ntenjeru South Hon. Nsanja Patrick Kayongo bebamu ku bagenyi ab’enjawulo abeetabye ku mukolo gw’okutuuza omulabirizi wa Mukono omuggya.