Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 382 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omukyala n’abaana bakkirizza obutemu

May 6, 2018 · Mubiru Ali

Omukyala n’abaana ba Omubazi  w’ebitabo bya Monitor Publications , Abel Katende eyattibwa gyebuvuddeko , bakkirizza nti beebaamutta.

Omulambo gwa Katende ono baagusuula mu Kaabuyonjo mu maka ge e Kasangati ate mwebaali bamusindiikirizza okuva era Police mweguggye.

Wetwogerera nga Police ya Flying Squad yamaze dda okugombamu obwala  abaana  Lilian Najuma ne Gideon Kaya (Abaana) ne Janet Namugenyi Katende – Omukyala.

Entabwe yava ku bya bugagga bya Katende era abavunaanibwa nebakola olukwesikwesi  olumukyalira era bwebatyo nebamukuba omuggo ogwamuttirawo nga 27 Ogwokuna omwaka guno.

Nabwekityo abakwate bakkirizza nti beebatta omugenzi era nebatwala Police  awali kabuyonjo mwebaasuula omulambo era Police eguggyeyo n’egutwala mu ddwaliro e Mulago nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso .