Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 85 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

omukuumi yekubye essasi nafiirawo

December 27, 2018 · Mubiru Ali

Omukuumi wa kkampuni enkuumi eya Rock Security Services akutte emmundu ne yeekuba essasi ku mutwe n’afiirawo bw’abadde ku mulimu gw’okukuuma ne banne ku Ssekukkulu. Charles Okene abadde asula ku ofiisi za kkampuni gy’abadde akolera e Kalinaabiri zooni II mu muluka gwa Bukoto II mu munisipaali ya Nakawa ye yeekubye essasi ku mutwe n’afiirawo.
Kyabadde tekinnamanyika ekyamwessizza kuba kiteeberezebwa nti yeekubye mu bugenderevu.
Poliisi yagguddewo fayiro nnamba SD37/25/12/2018 omulambo gwa Okene ne gutwalibwa mu ggwanika mu ddwaaliro e Mulago.