Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 34 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omukuumi w’eddwaliro lya Gavumenti asindikiddwa mu kkomera lwa kutunda ARVs – Lira

July 13, 2017 · Mubiru Ali

Omuserikale, James Ronnie Otyek abadde akuuma eddwaliro lya Gavumenti ery’e Lira asindikiddwa ku alimanda mu kkomera ly’e Lira, entabwe eva ku kutunda ddagala erikakkanya ku kawuka ka mukenenya (ARVs) ng’aliguza abalunzi b’embizzi.

Omulamuzi wa kkooti ento e Lira, Hillary Kiwanuka y’amusindise ku alimanda mu kkomera  lya Gavumenti erya Lira Central Prison akulunguleyo ebbanga lya ssabbiiti bbiri era nga bweyaleeteddwa mu kkooti ku biragiro bya RDC  – Robert Abak ku lwokusatu lwa ssabbiiti eno, omulamuzi teyamukkiriza kweyogerako olw’obudde.