Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,302 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Omukuumi wa Ssaabaminisita Nabbanja abombye

April 19, 2024 · Mubiru Ali

Okunoonyereza kutandise ku ngeri omukuumi wa Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister, Emmanuel Atwiine eyamuwerekeddeko mu Ggwanga lya Amerika mu Kibuga New York okukiikirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu lukuuŋŋaana lwa United Nations High Level gyeyabuzeemu okuva mu woteeri gyabadde asula.
Kigambibwa nti Atwiine yandiba nga yabulawo mu kiro ky’olunaku olwokubiri okuva mu woteeri e Manhattan wabula bano nebakitegeera ku lwokusatu bwatalabikako ku kyenkya.
Bano bazooka kulowooza nti oba yebase nnyo wabula oluvannyuma lwokumukubira amasimu nga tagakwata wamu n’obutaddamu message, bategeeza woteeri eyakuba essimu ki kisenge mwasula wabula nga tekwatibwa.
Woteeri yakiriza Abakungu ba Uganda okuyingira mu kisenge mwabadde asula nebasangamu egimu ku migugu gye wabula ye nga taliimu. Kigambibwa nti Atwiine akoze ne Nabbanja okumala kumpi emyaka 12 nga tanabomba alina munne gweyategezaako nga ye bwatadda Uganda nti era namusaba ategeeze banne obuteralikirira. Omwogezi wa Offiisi ya Ssaabaminisita Charles Odongtho yakakasizza ensonga eno era nategeeza nti okunoonyereza kwebakoze kwabalaze nti yayolekedde Ggwanga lya Canada.