Omukuumi wa RDC akubye omuwagizi wa People Power essasi

Omukumuumi wa RDC wa Disitulikiti y’e Amolatar Lillian Eyal, Pt RA 241999 Moses Tumukunde akwatiddwa Poliisi lwakukuba essasi nalumya Munnakisinde kya People Power – Uganda eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga Munnamateeka mu Gulu Moses Okot Junior.
Poliisi egamba nti Okot yakubiddwa essasi ku ssaawa munaana ez’omuttuntu okuliraana akatale ka Amolatar bweyabadde agezaako okukuba olukungaana lwa People Power.
RDC yalagidde Omukuumi we okukwata Okot wabula nagezaako okudduka ekyareetedde omusirikale okumukuba essasi mu kugulu.

.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ask M7 This Friday 18 Sept.