George Muyomba, nga mukuumi wa Kkampuni y’obwannanyini eya Pan African Carriers Uganda-Limited, ekuuma Southern Range Nyanza Textile Industry e Njeru agobeddwa ku mulimu oluvannyuma lw’okulagira Maneja Vinay Kumar okwambala ‘mask’ nga ekimu ku biragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Muyomba bamulanze kyebayise okuyisa mu mukama we amaaso.
Omukuumi wa Nytil agobeddwa lwakulagira Maneja kwambala mask

