Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 341 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Omukulu w’essomero lya Gavumenti e Luweero alisinze mu Bbanka ya Equity

March 22, 2023 · Mubiru Ali
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Luweero ekutte era neggalira Richard Mukasa eyali omukulu we ssomero lya Gavumenti erya Wobulenzi Public Primary School erisangibwa e Wobulenzi oluvannyuma lwokukizuula nti yasinga ebyapa by’ettaka ly’essomero lino mu bbanka ya Equity nafunirako ensimbi obukadde100 mu mwaka gwa 2019 wabula nezimulemerera okusasula kyokka nga tewàli namulimu gwalga gwezaakola.
Mukasa kigambibwa nti yekobaana nabamu abali ku Lukiiko lwa PTA era nga okutuuka okukwatibwa kidiridde omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti y’e Luweero Richard Byabwe Ntulume okufuna okwemulugunya okuva mu bazadde b’essomero lino nga bamulopera nga bwebabasasuza sente za loan ku bisale by’essomero buli ttaamu kyokka nga zanyagibwa omuntu omu.
Richard Mukasa ebbanja lino yalirya mu mwaka gwa 2019 nga ono yekobaana n’abamu ku bali ku lukiiko lwe ssomero lino okuli; Amos Kalema nga ono yali Ssentebe wa PTA, Hamis Kajjubi omuwanika , Godfrey Guyidde ne Moses Luzinda era nga bano bonna kati bakwate.